Judges 17:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yava e Beteleemu, n'agenda ng'anoonya ow'okubeera. Ng'atambula atyo n'ajja ku nnyumba ya Mika mu nsozi za Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ava mu kibuga kya Besirekemuyuda n’atandika okunoonya gy’anaabera, n’atuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka. Wabula yali akyali ku lugendo ng’akyanoonya aw’okubeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja oyo n'ava mu kibuga eky'e Besirekemuyuda n'anoonya ekifo wanaayinza okubeera, n'atambula n'atuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi awali ennyumba ya Mikka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'avaayo n'anoonya awalala gy'anaabeera. Bwe yali ng'atambula, n'atuuka ku nnyumba ya Mikka mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja oyo n'ava mu kibuga, mu Besirekemuyuda, okubeera gy'anaayinza okulaba (ekifo): n'atuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi eri ennyumba ya Mikka, ng'atambula: