Judges 17:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mika n'amubuuza nti: “Ova wa?” Ye n'ayanukula nti: “Ndi Muleevi; nva Beteleemu ekya Yuda; nnoonya kifo wa kubeera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mikka n’amubuuza nti, “Ova wa?” Omuleevi n’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemuyuda, era nnoonya we nnyinza okubeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mikka n'amubuuza nti, “Ova wa?” N'amuddamu nti, “Ndi Muleevi ow'e Besirekemuyuda, era noonya ekifo wennyinza okubeera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mikka n'amubuuza nti: “Ova wa?” N'addamu nti: “Ndi Muleevi w'e Betilehemu. Nnoonya walala gye nnyinza okubeera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mikka n'amugamba nti Ova wa? N'amugamba nti Nze Muleevi ow'e Besirekemuyuda, era ŋŋenda okubeera gye nnaayinza okulaba (ekifo).