Judges 18:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo mu Yisirayeli temwali kabaka; ekika ky'Abadaani ne kyenoonyeza we kinaasenga, babeere eyo, kubanga n'okutuusa ku lunaku lwa leero kyali tekinnafuna busika mu bika bya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Isirayiri teyalina kabaka. Era mu biro ebyo ekika ky’Abadaani baali banoonya ekifo aw’okubeera kubanga mu bika bya Isirayiri baali tebafunanga kifo kya kubeeramu ng’omugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biseera ebyo, tewaali kabaka mu Isiraeri; ne mu nnaku ezo ekika kya Daani bali beenoonyeza obutaka obw'okutuulamu; kubanga okutuusa mu kiseera ekyo, obusika bwabwe baali tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebyo, tewaali kabaka mu Yisirayeli. Mu nnaku ezo ab'Ekika kya Daani baali bakyanoonya ekitundu eky'okubeeramu, baali tebannafuna kitundu kyabwe mu Bika bya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: ne mu nnaku ezo ekika ky'Abadaani beenoonyeza obusika obw'okutuulamu; kubanga okutuusa ku lunaku olwo obusika bwabwe baali nga tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri.