Judges 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe munaatuukayo mujja kusanga abantu abatebenkevu, ensi engazi Katonda gy'abawadde, ensi etejula kantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mulituuka eyo muliraba abantu abakkakkamu ababeera mu nsi engazi, Katonda gy’atadde mu mukono gwammwe, era nsi erimu buli kintu omuntu kye yeetaaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munatuukayo mujja kusanga abantu abatalina kyebekengeera, ensi ngazi era erimu buli kintu omuntu kyeyetaaga. Katonda amaze okugigabula mu mukono gwammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaatuukayo, mujja kusanga abantu nga tebalina ke beekengera. Ensi ngazi. Erimu buli kintu, omuntu ky'ayinza okwetaaga. Katonda amaze okugigabula mu mikono gyammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe muligenda, mulisanga abantu abatamanyiridde, era ensi ngazi: kubanga Katonda agibawadde mu mukono gwammwe; ekifo ekitabulwamu kintu ekiri mu nsi.