Judges 18:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abasajja lukaaga okuva mu kika ky'Abadaani, abeesibye ebyokulwanyisa, ne basitula okuva e Zora ne Esutawoli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekika ky’Abadaani ne basitula okuva e Zola n’e Esutaoli, abasajja lukaaga nga balina ebyokulwanyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja abalwanyi lukaaga (600), nga balina eby'okulwanyisa ab'omu kika kya Daani, ne bava e Zola ne Esutaoli,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja lukaaga ab'omu Kika kya Daani ne basitula okuva e Zora ne Esutawoli, nga balina ebyokulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wavaayo okugenda ab'omu kika ky'Abadaani, abaava mu Zola ne mu Esutaoli, abasajja lukaaga abeesiba ebyokulwanyisa.