Judges 18:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagenda, ne basiisira e Kiriyati-Yewarimu ekya Yuda. Ekifo kino, ekiri ebugwanjuba wa Kiriyati-Yewarimu, kyekiva kiyitibwa Makane-Daani. Bwe kiyitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagenda ne basiisira okumpi ne Kiriyasuyalimu mu Yuda. Ekifo ekyo ne bakituuma Makanedani era kye kiyitibwa n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bambuka ne basiisira e Kiriyasuyalimu mu Yuda, ekifo ekyo kyebaava bakiyita Makanedani okutuusa ne leero; kiri mabega wa Kiriyasuyalimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bambuka, ne basiisira mu bukiikaddyo obwa Kiriyati Yaarimu mu Buyudaaya. Kyebava bayita ekifo ekyo Enkambi ya Daani n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bambuka, ne basiisira mu Kiriyasuyalimu mu Yuda: kyebava bayita ekifo ekyo Makanedani okutuusa leero: laba, kiri nnyuma w'e Kiriyasuyalimu.