Judges 18:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi y'e Layisi ne bagamba baganda baabwe nti: “Mumanyi nga mu nnyumba muno mulimu efodi, bulubaale bw'awaka, ekifaanaanyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse? Kati musalewo eky'okukola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ya Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu Efodi n’ebifaananyi ebyole n’ekifaananyi ekisaanuuse? Kale nno mukole kye mugwanira okukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja bali abataano (5) abaagenda okuketta ensi ey'e Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi mu nnyumba muno bwe mulimu ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi n'ekifaananyi ekyole n'ekisaanuuse? Kale nno kaakati mulowooze kye musaanira okukola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abataano abaali bagenze okuketta ensi y'e Layisi, ne bagamba bannaabwe nti: “Mubadde mumanyi nga mu emu ku nnyumba zino mulimu ekifaananyi ekyole, ekibikkiddwako ffeeza? Mulimu n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, era n'ekkanzu. Kale nno mulowooze kye mugwanira okukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja bataano abaagenda okuketta ensi ey'e Layisi ne baddamu ne bagamba baganda baabwe nti Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekyole, n'ekifaananyi ekisaanuuse? kale nno mulowooze ekibagwanira okukola.