Judges 18:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja olukaaga mu Badaani abaali beesibye ebyokulwanyisa baasigala bayimiridde ku muzigo gw'omulyango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe ne bayimirira ku mulyango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasajja bali olukaaga (600), abalwanyi abeesiba eby'okulwanyisa ab'omu kika kya Ddaani baali bayimiridde ku mulyango ogwa wankaaki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo abasajja bali olukaaga ab'omu Kika kya Daani abalina ebyokulwanyisa, baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasajja bali olukumi abeesiba ebyokulwanyisa ab'oku baana ba Ddaani baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki.