Judges 18:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bali abasajja abataano abaagenda okuketta ensi, ne bayingira mu nnyumba, ne batwala ekifaananyi kya lubaale ekyole, efodi, bulubaale bw'awaka n'ekifaananyi eky'ekyuma ekisaanuuse. Kabona ye yasigala ayimiridde ku muzigo gw'omulyango n'abasajja olukaaga abeesibye ebyokulwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja abataano abaagenda okuketta ne bayingira ne baggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, nga kabona n’abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe bayimiridde ku mulyango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasajja bali abataano (5) abaagenda okuketta ne bagenda ne bayingira mu nnyumba ne baggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi, n'ekifaananyi ekisaanuuse, naye ye kabona yali ayimiridde ku mulyango ogwa wankaaki wamu n'abasajja olukaaga (600), abaalina eby'okulwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abataano abakessi ne bambuka, ne bayingira mu nnyumba, ne batwala ekifaananyi ekyole, ekibikkiddwako ffeeza, n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, n'ekkanzu, nga kabona ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki, wamu n'abasajja olukaaga, abalina ebyokulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ne bambuka ne bayingira omwo, ne batwala ekifaananyi ekyole, n'ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne kabona yali ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki wamu n'abasajja bali olukaaga abeesiba ebyokulwanyisa.