Judges 18:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamwanukula nti: “Sirika; toyogera kantu, era jjangu naffe, ggwe oba obeera kitaffe era kabona. Ekisinga obulungi kiruwa, kubeera kabona wa nnyumba emu oba wa kika kiramba mu Yisirayeli?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Sirika tonyega. Jjangu naffe obeere kitaffe era kabona waffe. Kiki ekisinga, ggwe okuba kabona w’ennyumba y’omuntu omu, oba okuba kabona w’ekika kya Isirayiri?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baddamu nti, “Sirika, teeka engalo zo ku mumwa, ogende naffe obeere kabona waffe, tekisinga okuba kabona ow'ekika ky'abaana ba Isiraeri ekirondemu mu kifo ky'okuba kabona ow'ennyumba ey'omuntu omu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Sirika, tonyega! Jjangu naffe, obeere kabona waffe. Tekisinga okuba kabona w'Ekika ky'Abayisirayeli ekiramba, mu kifo ky'okuba kabona w'ennyumba y'omuntu omu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Sirika, engalo zo oziteeke ku kamwa ko ogende naffe, obeere gye tuli kitaffe era kabona: kisinga obulungi ggwe okubeera kabona eri ennyumba y'omuntu omu, oba okuba kabona eri ekika n'ennyumba mu Isiraeri?