Judges 18:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abadaani kwe kuyungula abasajja abeesobola bataano okwenkana amasiga gaabwe ataano mu kika kyabwe, okuva e Zora ne Esutawoli, ne babatuma bakette ensi bagyekkaanye bulungi. Ne babalagira nti: “Mugende, mwetegereze ensi.” Bo ne bajja mu nsozi za Efurayimu, ne batuuka ku nnyumba ya Mika, ne basula awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyebaava batuma abaana ba Ddaani bataano, abasajja abalwanyi, okuva mu kika kyabwe kyonna, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, bagende bakette ensi. Ne babagamba nti, “Mugende mukebere ensi.” Ne batuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka ne basula eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Ddaani ne berondamu abasajja bataano abazira okuva e Zola ne mu Esutaoli, ne babatuma bagende bakette ensi n'okugikebera. Awo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'omu Kika kya Daani bonna ne beerondamu abasajja abazira bataano, ne babatuma okuva mu Zora ne mu Esutawoli okuketta ensi n'okugyetegereza. Bwe baatuuka mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ne babeera mu nnyumba ya Mikka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Ddaani ne batuma ab'omu kika kyabwe abasajja bataano ku muwendo gwabwe gwonna, abasajja abazira, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, okuketta ensi n'okugikebera; ne babagamba nti Mugende mukebere ensi: ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo.