Judges 18:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona kino ne kimusanyusa n'atwala efodi, bulubaale obw'awaka, n'ekifaananyi kya lubaale ekyole n'agenda nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona n’asanyuka, n’atwala Efodi ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekyole n’agenda nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona n'asanyuka, n'atwala ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi n'ekifaananyi ekyole, n'agenda nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona n'asanyuka, n'atwala ekkanzu n'ekifaananyi ekyole, n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, n'agenda wamu nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwa kabona ne gusanyuka, n'atwala ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekyole, n'agenda wakati mu bantu.