Judges 18:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga basenvuddeko akabanga okuva ewa Mika, abasajja abaali mu mayumba okumpi n'ewa Mika ne beekuŋŋaanya, ne batuuka Abadaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batambulako akabanga okuva ku nnyumba ya Mikka, abasajja abaabeeranga mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana ne bawondera abaana ba Ddaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali batambuddeko olugendo oluwanvu okuva ku nnyumba ya Mikka, Mikka ne baliraanwa be ne bakuŋŋaana ne babawondera ne batuuka ku baana ab'ekika kya Ddaani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali batambudde olugendo oluwerako okuva ku nnyumba ya Mikka, Mikka n'ayita baliraanwa be, ne bawondera era ne batuuka ab'omu Kika kya Daani,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali balese ennyuma walako ennyumba ya Mikka, abasajja abaali mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana, ne batuuka ku baana ba Ddaani.