Judges 18:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakowoola Abadaani okuva emabega waabwe; bano ne bakebuka, ne bagamba Mika nti: “Mutawaana ki ogubakowooza?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali babakoowoola, abaana ba Ddaani ne bakyuka ne batunuulira Mikka ne bamubuuza nti, “Mutukoowoolera ki?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne babakoowoola. Ab'omu kika kya Ddaani ne bakyuka ne batunula emabega, ne bagamba Mikka nti, “Obadde otya okujja n'ekibiina ekinene bw'ekityo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne babakoowoola. Ab'omu Kika kya Daani ne bakyuka ne batunula emabega, ne bagamba Mikka nti: “Obadde otya okujja n'ekibiina ekinene bwe kityo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakoowoola abaana ba Ddaani. Ne bakyusa amaaso gaabwe ne bagamba Mikka nti Obadde otya okujja n'ekibiina ekyenkanidde wano?