Judges 18:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaanukula nti: “Mututte balubaale bange be neekolera ne kabona ne mwetambulira. Nze nsigazza ki? Mumbuuza mutya ate nti: ‘Mutawaana ki?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaddamu nti, “Mututte balubaale bange be neekolera, ne kabona. Kiki kye nsigazza? Muyinza mutya okumbuuza kye mbadde?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mikka n'abaddamu nti, “Mututte bakatonda bange be nnakola ne kabona wange ne mugenda naye, kati nze nsigazza ki? Lwaki mumbuuza nti, Obadde otya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mikka n'addamu nti: “Munzigyeeko kabona ne balubaale bange be nakola ne mubatwala, ne sisigaza kantu! Kale ate mumbuuza mutya nti: Obadde otya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Munziyeeko bakatonda bange be nnakola ne kabona ne mwegendera, nange nnina ki nate? kale mumbuuza mutya nti Obadde otya?