Judges 18:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abadaani ne bamugamba nti: “Toddamu n'otugambako, sikulwa ng'abasajja abakambwe bakuyiikira n'ozikirira, ggwe n'ennyumba yo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Sitwagala kuwulira ddoboozi lyo, si kulwa ng’abasajja abakambwe abali mu ffe bakulumba n’ofiirwa obulamu bwo n’obw’abo ab’omu nnyumba yo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja bano bakambwe baleme okukulumba ne bakutta ggwe n'ab'omu nnyumba yo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Daani ne bagamba nti: “Ekisinga, toyongera kwogera, sikulwa ng'abasajja bano abakambwe bakulumba ne bakutta ggwe n'ab'omu nnyumba yo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Ddaani ne bamugamba nti Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja ab'obusungu baleme okubagwako, naawe n'ofa n'ab'omu nnyumba yo.