Judges 18:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abadaani ne badda mu lugendo lwabwe ne beetambulira. Mika yalaba bamuyitiridde amaanyi, ne yeddirayo ewuwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Ddaani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi, n’akyuka n’addayo ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Ddaani ne beetambulira; awo Mikka bwe yalaba nga bamusinza amaanyi n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Daani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamusinze nnyo amaanyi, n'akyuka n'addayo ewuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Ddaani ne beetambulira: awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye.