Judges 18:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abadaani ne batwala Mika bye yakola ne kabona we, ne bajja e Layisi eri abantu abeetuulidde entende, abataliiko kye beeraliikirira, ne babatta n'obwogi bw'ebitala, n'ekibuga ne bakyokya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batwala ebintu Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi omwali abantu abakkakkamu abatamanyiridde, ne bakilumba ne batta abantu baamu n’ekitala, n’ekibuga ne bakikumako omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise nga bali mu mirembe, ne babatta n'obwogi bw'ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Daani bwe baamala okutwala ebintu bya Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne balumba Layisi, ekibuga eky'abantu abakkakkamu ab'emirembe, ne babatta, ekibuga ne bakyokya omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze; ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise abatamanyiridde, ne babatta n'obwogi bw'ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro.