Judges 18:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewaali abadduukirira kubanga baali wala ne Sidoni, ate nga tebalina nkolagana na bantu balala. Ekibuga kyali mu kiwonvu kumpi ne Beti-Rekobu; Abadaani ne bakizimba buggya, ne basenga omwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaaliwo eyajja okubataasa kubanga ne Sidoni kyali wala n’ekibuga ekyo, ate nga tebalina nkolagana na muntu yenna. Ekibuga kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu. Abaddaani ne bazimba buto ekibuga ne babeera omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaaliwo bajja kubataasa, kubanga Layisi kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu, nga kyesudde nnyo Sidoni, ate ng'abaayo tewali bantu balala be bakolagana nabo. Ab'omu kika kya Daani ne bazimba buggya ekibuga, ne babeera omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaaliwo bajja kubataasa, kubanga Layisi kyali mu kiwonvu ekiriraanye Beturihobu, nga kyesudde nnyo Sidoni, ate ng'abaayo tewali bantu balala be bakolagana nabo. Ab'omu Kika kya Daani ne bazimba buggya ekibuga, ne babeera omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewaabaawo mulokozi, kubanga kyali wala We Sidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna: era kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu. Ne bazimba ekibuga ne batuula omwo.