Judges 18:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bali kumpi n'ennyumba ya Mika, ne bawulira eddoboozi ly'omuvubuka Omuleevi, ne bakyama ne bamubuuza nti: “Ani eyakuleeta wano? Wano okolawo ki? Lwaki oli wano?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali eyo okumpi n’ennyumba ya Mikka ne beetegereza eddoboozi ly’omuvubuka Omuleevi, ne bakyama ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki wano? Era lwaki oli wano?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali bali eyo mu nnyumba ya Mikka, ne bawulira eddoboozi ery'omuvubuka Omuleevi; ne bamuzza ku bbali ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki mu kifo kino? Era kiki ky'olina wano?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali bali eyo, ne beetegereza enjogera y'omuvubuka Omuleevi, ne bamutuukirira, ne bamubuuza nti: “Okola ki wano? Era ani yakuleeta wano?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali bali eyo mu nnyumba ya Mikka, ne bategeera eddoboozi ly'omuvubuka Omuleevi: ne bakyama okugenda eyo, ne bamugamba nti Ani eyakuleeta wano? era okola ki mu kifo kino? era kiki ky'olina wano?