Judges 18:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abadaani ne beeteekerayo ekifaananyi kya lubaale ekyole; Yonatani, mutabani wa Gerusomu mutabani wa Musa ne bazzukulu be be baabanga bakabona ba Badaani okutuusa ensi lwe yatwalibwa mu busibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Ddaani ne beeterawo ekifaananyi ekyole, ne balonda Yonasaani mutabani wa Gerusomu, muzzukulu wa Musa, ne batabani be okuba bakabona eri ekika ky’Abadaani okutuusa ensi lwe yawambibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole, ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu era muzzukulu wa Musa ye, ne batabani be ne babeera bakabona b'ekika kya Daani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abadaani ne basimba ekifaananyi kiri ekyole okukisinzanga. Yonataani mutabani wa Gerusoomu, era muzzukulu wa Musa n'aba kabona waabwe. Ye n'abasika be, ne baba bakabona mu b'Ekika kya Daani, okutuusa abantu lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole: ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye ne batabani be be baali bakabona eri ekika ky'Abadaani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako.