Judges 18:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ekifaananyi kya Mika ekya lubaale ekyole kye yali akoze baakisigaza ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda lye yamala mu Silo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bassaawo ebifaananyi ebyole Mikka bye yali yeekoledde, ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda we yabeerera mu Siiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ab'ekika kya Daani ne beesimbira ekifaananyi ekyole Mikka kye yakola, ennaku zonna ennyumba ya Katonda ng'ekyali mu Siiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekifaananyi, Mikka kye yalina, ne kisigalawo ebbanga lyonna, Weema ya Katonda lye yabeerawo mu Siilo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne beesimbira ekifaananyi kya Mikka ekyole kye yakola, ennaku zonna ennyumba ya Katonda ng'ekyali mu Siiro.