Judges 18:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ababuulira bino na biri Mika bye yali amukoledde. N'abagamba nti: “Ampa omusaala era ndi kabona we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abategeeza Mikka bye yamukolera, n’abagamba nti, “Yampangisa era ndi kabona we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaddamu nti, “Twategeragana ne Mikka ansasulenga empeera mbeere kabona we.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addamu nti: “Twategeeragana ne Mikka: ampa empeera, ne mba kabona we.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Bw'atyo ne bw'atyo Mikka bwe yankola, n’ampeera, nange ne nfuuka kabona we.