Judges 18:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Weebuuze eri Katonda tumanye oba olugendo lwaffe lunaalama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, kaakano weebuuze ku Mukama, obanga olugendo lwe tugenda luliba n’omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba nti, “Buuza Katonda atutegeeze oba nga olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n'omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamugamba nti: “Tukwegayiridde, buuza Katonda atumanyise oba ng'olugendo lwaffe lunaaba n'omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Tukwegayirira, buuza Katonda atulagule, tumanye oba ng'olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n'omukisa.