Judges 18:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona n'abaddamu nti: “Mugende mirembe; olugendo lwammwe lwe muliko luliko obulabirizi bw'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona n’abaddamu nti, “Mugende mirembe, kubanga Mukama Katonda asiimye mugende ku lugendo lwammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona n'abagamba nti, “Mugende mirembe, olugendo lwammwe Mukama alukkiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona n'abagamba nti: “Temweraliikirira, Mukama abalabirira mu lugendo lwammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabona n'abagamba nti Mugende mirembe: olugendo lwammwe lwe mugenda luli mu maaso ga Mukama.