Judges 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abataano ne bagenda, ne bajja e Layisi, ne balaba abantu baayo nga beetuulidde entende, era nga bw'eri empisa y'Abasidoni, nga tebaliiko kibeeraliikiriza, bali mirembe. Engeri ensi yaabwe gye yali erina buli kintu, baali bagagga. Kyokka baali walako n'Abasidoni, ate nga tebalina nkolagana na bantu balala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja abataano ne bava awo, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng’abantu baayo bali mirembe ng’Abasidoni bwe baali. Baali bakkakkamu, nga balina buli kye beetaaga mu nsi, era nga beesudde akabanga n’Abasidoni, nga tewali muntu n’omu gwe bakolagana naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abo abataano ne balyoka bagenda ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu bayo nga batudde mirembe okufaanana nga ab'e Sidoni, nga basirise nga tebalina ky'ebekengeera kyonna, nga tewali abatataganya era nga balina byonna bye beetaaga. Baali wala n'ab'e Sidoni ate nga tebalina bantu balala bonna bebakolagana nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja abo abataano ne bagenda, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng'abantu baayo bali mirembe ng'ab'e Sidoni bwe bali. Baali bakkakkamu, nga ba mirembe, nga balina byonna bye beetaaga. Baali beesudde nnyo Abasidoni, era nga tewali bantu balala be bakolagana nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja abo abataano ne balyoka beegendera, ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu abali omwo, nga batuula mirembe, ng'engeri ey'Abasidoni bw'eri, nga basirise nga balina emirembe; kubanga tewaali muntu mu nsi nannyini buyinza eyandiyinzizza okubaswaza mu kigambo kyonna, era baabali wala Abasidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna.