Judges 18:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne badda eri baganda baabwe mu Zora ne mu Esutawoli. Baganda baabwe ne bababuuza nti: “Ebintu byagenda bitya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakessi bwe baddayo eri baganda baabwe e Zola n’e Esutaoli, baganda baabwe ne bababuuza nti, “Bigenze bitya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja abataano ne baddayo eri baganda baabwe ab'e Zola ne Esutaoli, ne bababuuza nti, “Muleese mawulire ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abataano bwe baddayo e Zora, ne Esutawoli, baganda baabwe ne bababuuza bye bazudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuuka eri baganda baabwe e Zola ne Esutaoli: baganda baabwe ne babagamba nti Mwogera mutya?