Judges 18:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baddamu nti: “Musituke, tugende tubalumbe, anti ensi twagirabye; nnungi nnyo. Temubeeko kye mukolawo? Temulonzalonza kugendayo ne mugyezza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baddamu nti, “Mugolokoke, tubalumbe. Tulabye ensi, era laba, nga nnungi nnyo. Temuyinza butagenda. Temulwa, tugende tulye ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu nti, “Musituke tugende tubalwanyise kubanga ensi tugirabye nga nnungi nnyo. Kale laba munaaberawo nga temulina kye mukoze? Temugayaala mwanguwe mugende mugiwambe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baddamu nti: “Musituke, tugende tulumbe Layisi. Ensi tumaze okugiraba, nnungi nnyo. Temugayaalira wano. Mwanguwe! Mugende mugiwambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Mugolokoke twambuke okulwana nabo: kubanga tumaze okulaba ensi, era, laba, nnungi nnyo: nammwe musirise? temugayaala kugenda n'okuyingira okulya ensi.