Judges 19:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo mu Yisirayeli temwali kabaka. Waaliwo omusajja Omuleevi, ng'abeera eyo mu masosso g'ensozi za Efurayimu; n'awasa omukazi omuzaana gwe yaggya e Beteleemu ekya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri. Ne wabaawo Omuleevi eyabeeranga mu kyalo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu eyawasa omukazi mu Besirekemu mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu nnaku ezo, bwe wali nga tewali kabaka mu Isiraeri, ne wabaawo Omuleevi eyabeeranga ewala mu nsi eya Efulayimu ey'ensozi, nnaggya omuwala mu Besirekemuyuda n'amuwasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu nnaku ezo nga tewannaba kabaka mu Yisirayeli, ne wabaawo Omuleevi, eyabeeranga ewala mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. N'aggya omuwala mu Betilehemu mu Buyudaaya n'amuwasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu nnaku ezo, nga tewali kabaka mu Isiraeri, ne wabaawo Omuleevi eyatuula emitala w'ensi ya Efulayimu ey'ensozi, eyaggya omuzaana mu Besirekemuyuda n'amuwasa.