Judges 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batuuka e Yebusi; olunaku nga lweyezeewo nnyo, omuweereza n'agamba mukama we nti: “Nkwegayiridde, gira, tukyame mu kibuga ky'Abayebusi kino tusule eyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, n’obudde nga buyise, omuweereza n’agamba mukama we nti, “Jjangu tukyame tuyingire mu kibuga kino eky’Abayebusi tusule omwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe batuuka e Yebusi obudde bwali buwungedde nnyo; omuddu n'agamba mukama we nti, “Nkwegayiridde tukyame tusule mu kibuga kino eky'Abayebusi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka e Yebusi ng'obudde bugenze nnyo, omuddu n'agamba mukama we nti: “Lwaki tetukyama ne tusula mu kibuga kino eky'Abayebusi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, obudde bwali buyitiridde nnyo; omuddu n'agamba mukama we nti Jjangu, nkwegayiridde, tukyame tuyingire mu kibuga kino eky'Abayebusi, tusule omwo.