Judges 19:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama we n'amwanukula nti: “Tetujja kukyama mu kibuga ky'abagwira, ekitali ky'Abayisirayeli. Tuyite buyisi tulage e Gibewa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama we n’amuddamu nti, “Tetuukyame kuyingira mu kibuga ky’abatali baana ba Isirayiri, eky’abannaggwanga. Tujja kweyongerayo tulage e Gibea.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama we n'addamu nti, “Tetuukyame kusula mu kibuga kya munnaggwanga atali wa baana ba Isiraeri; naye tweyongereyo tugende e Gibea.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama we n'amugamba nti: “Tetuukyame kusula mu kibuga ky'abatali Bayisirayeli. Tuyitewo tweyongereyo katono, tusule mu Gibeya oba mu Raama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama we n'amugamba nti Tetuukyame kuyingira mu kibuga kya munnaggwanga, atali wa baana ba Isiraeri; naye tunaasomoka okugenda e Gibea.