Judges 19:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakyama eyo gye baba basula. Ne bagenda, ne batuula mu mbuga y'ekibuga; kyokka ne wabulawo abatwala okubasuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakyama eyo mu Gibea, gye baba basula. Ne balaga mu kifo ekigazi eky’ekibuga ne batuula eyo, kyokka ne wataba muntu n’omu eyajja okubatwala ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bakyama basule mu Gibea, ne bayingira mu kibuga ne batuula mu kibangirizi; kubanga tewaali muntu abayingiza mu nnyumba ye okubasuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakyama eyo gye baba basula. Ne bayingira mu kibuga, ne batuula mu kibangirizi, ne wataba abayingiza mu nnyumba ye okubasuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakyamira eyo, okuyingira okusula mu Gibea: n'ayingira n'atuula mu luguudo lw'ekibuga: kubanga tewaali muntu abayingiza mu nnyumba ye okubasuza.