Judges 19:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akawungeezi ne wajjawo omukadde eyali ava mu nnimiro ye okukola: naye yali azaalibwa mu nsozi za Efurayimu, naye nga yasenga mu Gibewa. Ab'omu kitundu bo baali Babenyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era laba, ne wajja omusajja omukadde eyali ava ku mirimu gye egy’omu nnimiro akawungeezi, ng’asibuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’abeera mu Gibea. Abantu b’e Gibea baayitibwanga Babenyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo baali bakyali awo, omusajja omukadde n'ajja ng'ava ku mirimu gye mu nnimiro akawungeezi; omusajja oyo okusooka yali wa mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, naye kati nga abeera mu Gibea; kyokka abantu abalala ab'omu kifo ekyo baali ba kika kya Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali bakyali awo, omusajja omukadde n'ajja ng'ava mu mirimu gye mu nnimiro akawungeezi. Omusajja oyo okusooka, yali wa mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, naye olwo yali abeera mu Gibeya. Abantu baayo abalala baali ba mu Kika kya Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, laba, omukadde n'ajja ng'ava mu mirimu gye mu nnimiro akawungeezi; era omusajja oyo yali wa nsi ya Efulayimu ey'ensozi, yali atuula mu Gibea: naye abasajja ab'ekifo baali Babenyamini.