Judges 19:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukadde bwe yasitula amaaso, n'alaba omuntu omutambuze mu mbuga y'ekibuga, n'amugamba nti: “Ate ogenda wa? Ova wa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayimusa amaaso ge n’alaba omusajja omutambuze, ng’ali mu kifo ekigazi eky’ekibuga. Omusajja n’amubuuza nti, “Ova wa era olaga wa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja ono omukadde, bwe yalengera omuyise ng'ali mu kibangirizi eky'ekibuga kwe kugenda n'amubuuza nti, “Ova wa? Era ogenda wa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja omukadde bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba omuyise oli, mu kibangirizi ky'ekibuga, n'amubuuza nti: “Ova wa? Era ogenda wa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimusa amaaso ge, n'alaba omuyise oli mu luguudo lw'ekibuga; omukadde n'ayogera nti Ogenda wa? era ova wa?