Judges 19:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amwanukula nti: “Tuvudde Beteleemu ekya Yuda, tugenda eyo mu masosso g'e Efurayimu gye mbeera. Eyo gye nava ne ŋŋenda e Beteleemu mu Yuda, kati ŋŋenda ku kiggwa ky'Omukama; tewali n'omu atututte kutusuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemu mu Yuda, ndaga mu byalo eby’ensi ey’ensozi eya Efulayimu gye mbeera. Nva mu Besirekemu mu Yuda, nzirayo mu nnyumba ya Mukama, naye tewali anyannirizza mu nnyumba ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuddamu nti, “Tuva Besirekemuyuda tuddayo ewaffe mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, naye tewali muntu atuyingiza mu nnyumba ye okutusuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuleevi n'addamu nti: “Tuva Betilehemu mu Buyudaaya, nga tuddayo eka ewala mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Naye tewali atuyingizza wuwe kutusuza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Tuva mu Besirekemuyuda nga tugenda emitala w'ensi ya Efulayimu ey'ensozi; gye nnava ne ŋŋenda e Besirekemuyuda: ne kaakano ŋŋenda mu nnyumba ya Mukama; so tewali muntu annyingiza mu nnyumba ye.