Judges 19:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amuyingiza mu nnyumba ye; endogoyi n'aziwa emmere yaazo; nabo ne banaaba ku bigere, oluvannyuma ne balya, ne banywa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’abatwala mu nnyumba ye, n’aliisa endogoyi ze, ne banaaba ku bigere, ne balya, ne banywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'amuyingiza mu nnyumba ye, n'endogoyi n'aziwa eby'okulya; ne banaaba ebigere byabwe, ne balya ne banywa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'abayingiza mu nnyumba ye, endogoyi zaabwe n'aziwa ebyokulya. Bo ne banaaba ebigere, ne balya, ne banywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'amuyingiza mu nnyumba ye, n'endogoyi n’aziwa ebyokulya: ne banaaba ebigere byabwe, ne balya ne banywa.