Judges 19:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bakyali mu kusanyuka, abasajja b'omu kibuga ekyo abagwagwa, ne bajja ne beetooloola ennyumba, ne bakuba enzigi nga baleekaana, nga bwe bagamba nnannyinimu nti: “Fulumya omusajja eyayingidde omumwo twebake naye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali nga beesanyusaamu, laba, abasajja ab’omu kibuga ekyo, abaana ab’obutali butuukirivu ne bazingiza ennyumba nga bwe bakoona oluggi. Ne bagamba nannyini nnyumba, omusajja omukadde nga bwe bawowoggana nti, “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, tumusiyage.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali nga bakyasanyuka, abasajja ab'omu kibuga abagwenyufu ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, ne bakonkona ku luggi, ne bagamba nnyini nnyumba omukadde oli nti, “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyuma twegatte naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baali nga basanyuka, abasajja ab'omu kibuga abagwenyufu ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, ne bakonkona ku luggi. Ne boogera ne nnannyini nnyumba, omukadde oli, nga bamugamba nti: “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, twebake naye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali nga beesanyusa emitima, laba, abasajja ab'omu kibuga, abaana ba Beriali, ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, nga bakoona ku luggi; ne boogera ne nannyini nnyumba, omukadde oli, nga bagamba nti Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo tulyoke tumumanye.