Judges 19:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnannyinimu n'afuluma gye bali n'abagamba nti: “Nedda, bannange, muleme kukola kibi ekyo; kubanga omusajja ono mugenyi wange; mbeegayiridde muleke kukola kya bugwagwa kityo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nannyini nnyumba n’afuluma, n’abagamba nti, “Nedda mikwano gyange, temubeera bagwenyufu. Olw’okuba ng’omusajja ono azze mu nnyumba yange, temukola kintu kya buswavu bwe kityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja nannyini nnyumba, n'afuluma n'abagamba nti, “Nedda, baganda bange, mbeegayiridde, temukola bubi obwenkanidde wano; kubanga omusajja ono mugenyi wange, temukola kya busirusiru kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja nnannyini nnyumba n'afuluma n'abagamba nti: “Nedda, bannange! Mbeegayiridde, temukola kibi kyenkanidde awo! Omusajja ono mugenyi wange. Temukola kya bugwenyufu kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja, nannyini nnyumba, n'abafulumira n'abagamba nti Nedda, baganda bange, mbeegayirira, temukola bubi obwenkanidde wano; kubanga omusajja ono ayingidde mu nnyumba yange, temukola kya busirusiru kino.