Judges 19:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe, nnina wano muwala wange embeerera n'omuzaana w'omusajja ono; ka abo be mba nfulumya; muyinza okubeeyambisa n'okubakolako byonna bye mwagala; kyokka mbeegayiridde, omusajja ono temumukolako kya bugwagwa kityo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulaba muwala wange wuuno, mbeerera, ate n’omukazi w’omusajja naye nzija kubamuwa. Baabo mubakole kye mwagala. Naye omusajja ono temumukola kintu kya buswavu bwe kityo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kambawe muwala wange embeerera ne mukazi w'omusajja ono mubakole kyemwagala; naye omusajja ono temumukolako kya busirusiru kyonna ekiriŋŋaanga ekyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe, waliwo mukazi we, ne muwala wange akyali embeerera. Abo be nnaafulumya kaakano, ne mubakolako kye mwagala. Naye omusajja ono temumukolako kya bugwenyufu ekyenkana awo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, muwala wange wuuno, atamanyanga musajja, n'omuzaana we; abo be nnaafulumya kaakano, nammwe mubatoowaze, mubakole nga bwe munaalaba nga kirungi: naye omusajja ono temumukola kya busirusiru kyonna ekiriŋŋanga ekyo: