Judges 19:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abasajja nga tebamuwuliriza. Omusajja kwe kukwata omuzaana we n'amufulumya gye bali, bo ne bamusobyako n'okumujolonga ekiro kyonna; mmambya ng'asala ne bamuta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abasajja ne bagaana okumuwuliriza. Omusajja kyeyava addira mukazi we, n’amufulumya, ne bamukwata ne bamusobyako ekiro kyonna, ne bamuta agende ng’emmambya esala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abasajja ne batamuwuliriza, awo Omuleevi naddira mukazi we n'amuwaayo gyebali, ne bamusobyako okukeesa obudde, awo emmambya bwe yali esala ne bamuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abasajja ne batamuwuliriza. Awo Omuleevi n'akwata mukazi we, n'amufulumya gye bali. Ne bamwebakako, ne bamukolako eby'effujjo ekiro kyonna. Obudde bwe bwali bukya ne bamuta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abasajja ne bagaana okumuwulira: awo omusajja n'akwata omuzaana we; n'amufulumya gye bali; ne bamumanya, ne bamwonoona okukeesa obudde: awo emmambya bwe yasala, ne bamuta.