Judges 19:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya omusajja n'azuukuka, n'aggulawo oluggi, n'afuluma ayongere olugendo lwe. Gye yakuba amaaso, nga ku mukazi omuzaana we, agudde mu mulyango, emikono gigudde ku mwango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama we bwe yagolokoka mu makya, n’aggulawo enzigi z’ennyumba ye n’afuluma agende ku lugendo lwe, laba, mukazi we ng’agudde mu maaso g’ennyumba, ng’emikono gye gikunukkiriza omulyango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bba bwe yagolokoka ku makya n'aggulawo oluggi, n'afuluma okugenda, n'asanga mukazi we, ng'agudde mu maaso g'ennyumba, emikono gye nga gikunukkiriza omulyango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bba bwe yagolokoka ku makya n'aggulawo oluggi, n'afuluma okugenda, n'asanga mukazi we, ng'agudde mu maaso g'ennyumba, emikono gye nga gikunukkiriza omulyango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mukama we n'agolokoka enkya, n'aggulawo enzigi z'ennyumba, n'afuluma okwegendera: era, laba, omukazi omuzaana we yali agudde ku luggi lw'ennyumba, engalo ze nga ziri ku mulyango.