Judges 19:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka awaka, n'addira akambe, omuzaana we n'amusalaasalamu kitundu ku kitundu ebitundu kkumi na bibiri, n'abiweereza wonna mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka ewuwe, n’addira akambe, n’akwata mukazi we, n’amusalaasalamu ebifi kkumi na bibiri, n’abiweereza mu buli kitundu ekya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yatuuka mu nnyumba ye, n'addira akambe, omulambo gw'omukazi we n'agusalamu ebitundu kkumi na bibiri (12), buli kika kya Isiraeri n'akiwerezaako ekitundu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yatuuka eka, n'ayingira mu nnyumba ye, n'aggyayo akambe, n'akwata omulambo gwa mukazi we n'agusalamu ebitundu kkumi na bibiri, buli kika kya Yisirayeli n'akiweerezaako ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yatuuka mu nnyumba ye, n'addira akambe, n'akwata omuzaana we, n'amusalamu, ng'amagumba ge bwe gali, ebitundu kkumi na bibiri, n'anmuweereza okubunya ensalo zonna eza Isiraeri: