Judges 19:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu bba yamugoberera ng'ayagala amuwooyewooye akomewo. Yagenda n'omuweereza we n'obulogoyi bubiri. Omuwala n'amutwala mu nnyumba ya kitaawe; mukoddomi we n'amwaniriza n'essanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bba n’agolokoka n’agenda n’omuweereza we n’endogoyi bbiri okwogera ne mukazi we amukomyewo. Omukazi n’amutwala mu nnyumba ya kitaawe era kitaawe w’omuwala bwe yamulaba n’asanyuka era n’amwaniriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bba n'asituka n'agenda okumuwooyawooya amukomyewo, nga ali n'omuddu we n'endogoyi bbiri (2). Awo omusajja n'atuuka ku nnyumba ya taata wa mukazi we, taata wa mukazi we bwe yamulaba, najja n'essanyu okumusisinkana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bba n'asituka n'agenda okumuwooyawooya amukomyewo. N'atwala omuddu we n'endogoyi bbiri. Omuwala n'amuyingiza mu nnyumba ya kitaawe. Kitaawe w'omuwala bwe yamulaba, n'amwaniriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bba nagolokoka n'amugoberera okumubuulira eby'ekisa, okumukomyawo, ng'alina omuddu we, n'endogoyi bbiri: n'amuyingiza mu nnyumba ya kitaawe: awo kitaawe w'omuwala bwe yamulaba, n'asanyuka okusisinkana naye.