Judges 19:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli eyakirabanga ng'agamba nti: “Ekifaanana kiti tekirabwangako era tekikolwangako bukya bajjajjaffe bambuka kuva mu Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero. Mukyekkaanye, musale amagezi, mutubuulire eky'okukola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo buli muntu eyabirabangako n’agamba nti, “Ekikolwa ekiri nga kino tekikolebwanga so tekirabibwanga okuva ku lunaku abaana ba Isirayiri lwe baayambukirako okuva mu nsi y’e Misiri n’okutuusa leero. Mukirowoozeeko, mukifumiitirizeeko era tulabe eky’okukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bonna abaalaba ekyo ne bagamba nti, “Ekiri nga kino tekirabibwangako bukya baana ba Isiraeri bava mu misiri, mukirowooze, muteese, tulabe eky'okukola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bonna abaalaba ekyo ne bagamba nti: “Ekiri nga kino tekibangawo era tekirabibwangako bukya Bayisirayeli bava mu Misiri. Mukirowooze, muteese, tulabe eky'okukola!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bonna abaalaba ekyo ne boogera nti Ekikolwa ekiriŋŋanga kino tekikolebwanga so tekirabwanga okuva ku lunaku abaana ba Isiraeri lwe baayambukirako okuva mu nsi y'e Misiri okutuusa leero: mukirowooze, mukiteese, mwogere: