Judges 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukoddomi we, kitaawe w'omuwala, n'amusibaasiba, naye n'asigala naye. N'asigala ennaku ssatu ewa mukoddomi we, nga balya, banywa bonna; n'asula eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mukoddomi we, kitaawe w’omuwala n’amuwaliriza asigaleyo ennaku ssatu. Ne balya ne banywa ne basula eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukoddomi we, taata w'omuwala, n'amukkiriza n'amalayo ennaku ssatu, nga balya nga banywa, nga basula eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaawe w'omuwala n'alwisa mukoddomi we, n'amukkirizisa okumalayo ennaku ssatu. Bwe batyo ne balya ne banywa, ne basulayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukoddomi we, kitaawe w'omuwala, n'amulwisa; n'amalayo naye ennaku ssatu: bwe batyo ne balya ne banywa ne basula eyo.