Judges 19:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwokuna, bwe baazuukuka ku makya, n'ategeka okugenda; kitaawe w'omukazi n'agamba mukoddomi we nti: “Wezzeemu ku ndasi n'akatundu k'omugaati olyoke ogende.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwokuna ne bagolokoka mu makya, Omuleevi ne yeeteekateeka okugenda. Kyokka kitaawe w’omuwala n’agamba mukoddomi we nti, “Mwesanyuse mumale okulya ku mmere, mulyoke mugende.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwokuna ne bagolokoka enkya ku makya ne beetegeka okugenda. Naye taata w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti, “Mumale okulya ku mmere mulyoke mugende.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu makya g'olunaku olwokuna, ne bagolokoka nga bukyali, ne beetegeka okugenda. Kyokka kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti: “Mumale okulya ku kamere mulyoke mugende.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'okuna ne bagolokoka enkya mu makya, naye n'agolokoka okugenda: kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti Sanyusa omutima gwo n'akamere mulyoke mugende.