Judges 19:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batuula bombi, ne balya ne banywa. Kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti: “Kkiriza, sula osanyukemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batuula ne balya era ne banywa bonna wamu. Kitaawe w’omuwala n’agamba omusajja nti, “Kaakano kkiriza osule, omutima gwo gusanyukeko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batuula, ne balya ne banywa, bombi wamu, taata w'omuwala n'agamba omusajja nti, “Nkwegayiridde, kkiriza osulewo, omutima gwo gusanyuke.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne batuula, ne balya ne banywa bombi wamu. Kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti: “Nkwegayiridde kkiriza osule, osanyukeko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batuula, ne balya ne banywa; bombi wamu: kitaawe w'omuwala n'agamba omusajja nti Nkwegayiridde, kkiriza osulewo; omutima gwo gusanyuke.