Judges 19:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya ku lunaku olwookutaano bwe yasituka okugenda, kitaawe w'omuwala n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, gira wezzeemu ku ndasi; Linda okutuusa akawungeezi.” Bombi ne balya wamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwokutaano, bwe yagolokoka mu makya okugenda, kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Weesanyuse kaakano. Ojjira weesanyusa okutuusa obudde lwe bunaawungeera.” Ne balya bonna wamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agolokoka enkya mu makya ku lunaku olw'okutaano okugenda; taata w'omuwala n'ayogera nti, “Sanyusa omutima gwo, nkwegayiridde, mubeere wano, okutuusa obudde lwe bunaawungeera;” ne balya bombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokutaano n'agolokoka nkya mu makya okugenda. Kitaawe w'omuwala n'amugamba nti: “Sanyukako, nkwegayiridde. Mubeere wano okutuusa obudde lwe bunaawungeera.” Bwe batyo ne balya bombi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka enkya mu makya ku lunaku olw'okutaano okugenda; kitaawe w'omuwala n'ayogera nti Sanyusa omutima gwo, nkwegayiridde, mubeere wano, okutuusa obudde lwe bunaawungeera; ne balya bombi.