Judges 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja bwe yasituka agende n'omuzaana we n'omuweereza we, era mukoddomi we, kitaawe w'omuwala, n'amugamba nti: “Kati laba obudde bugenda kuwungeera, musule; sula osanyukemu, munaasitula enkya ku makya ne mugenda, n'odda mu weema yo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bwe yagolokoka okugenda ne mukazi we n’omugole we, mukoddomi we kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Laba, kaakano obudde buzibye. Sula obudde buyise. Sigala wano weesanyuse, onoogolokoka enkya n’oddayo ewuwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja bwe yagolokoka okugenda, ye n'omukazi we n'omuddu we, mukoddomi we, taata w'omuwala n'amugamba nti, “Laba, kaakano obudde bunaatera okuwungeera, mbeegayiridde musule; laba obudde bugenda buziba, beera wano, omutima gwo gusanyuke; enkya mukeere okutambula, oddeyo eka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja ne mukazi we n'omuddu bwe baasituka okugenda, kitaawe w'omuwala n'agamba nti: “Laba, kaakano obudde buubuno buwungedde. Mbeegayiridde musule. Obudde bunaatera okuziba. Beera wano osanyuke. Enkya mukeere okutambula, oddeyo eka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja bwe yagolokoka okugenda, ye n'omuzaana we n'omuddu we, mukoddomi we kitaawe w'omuwala n'amugamba nti Laba, kaakano obudde bunaatera okuwungeera, mbeegayiridde musule: laba obudde bugenda buziba, beera weno, omutima gwo gusanyuke; enkya mukeere okutambula, oddeyo eka.