Judges 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama yava e Gilugali n'ayambuka e Bokimu, n'agamba nti: “Nabaggya mu Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe. Nagamba nti: ‘Sigenda kumenya ndagaano yange nammwe emirembe gyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'agenda e Bokimu. N'ayogera nti, “Nnabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe; ne njogera nti, ‘sirimenya ndagaano yange gye nnalagaana nammwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Malayika wa Mukama n'ava e Gilugaali n'agenda e Bokimu, n'agamba Abayisirayeli nti: “Nabaggya mu nsi y'e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nasuubiza bajjajjammwe. Nagamba nti sirimenya ndagaano yange gye nakola nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'ayambuka e Bokimu. N'ayogera nti Nabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe; ne njogera nti Sirireka ndagaano yange (gye nnalagaana) nammwe: